Exodus 29:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu batabani be anaamusikiranga mu bwakabona anaabyambaliranga ennaku musanvu bw'anaayingiranga mu Weema ey'Ensisinkano okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana anaabanga azze mu bigere bya Alooni nga kabona, anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw’anajjanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutabani we alimusikira mu bwakabona, anaayambalanga ebyambalo ebyo okumala ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, okuweereza mu Kifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu.