Exodus 29:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balyanga ebyeyambisiddwa mu mukolo ogw'okuddaabiriza ku lwabwe mu kuweebwa obwakabona ne mu kutukuzibwa. Tewabangawo muntu wa bulijjo alyangako; anti bintu bitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaalya ku ebyo ebikozesebbwa ku mukolo ogw’okusonyiyibwa kwabwe lwe batukuzibwa era lwe bayawulirwako. Naye atali kabona tabiryangako, kubanga bitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa; naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balirya ebyo ebiweereddwayo olw'okusonyiyisa ebibi nga baawulibwa, era nga batukuzibwa. Bakabona bokka be balibiryako, kubanga bitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa: naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu.