Exodus 29:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa ennyama ey'ekitambiro eky'okuwa obwakabona, oba n'emigaati bisigalawo okutuusa enkeera, obyokyanga, si bya kuliibwa, bintu bitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era singa ku nnyama y’okwawula ne ku migaati wasigalawo ebiremye okutuusa enkeera, byonna byokebwanga bwokebwa; tewabanga abirya, kubanga bitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, olibyokya n'omuliro; tebiririibwa, kubanga bitukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku nnyama eyo, oba ku migaati egyo, bwe walibaawo ebisigaddewo okutuusa enkya, olibyokya mu muliro. Tebiririibwa, kubanga bitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, n'obyokya ebirisigalawo n'omuliro: tebiririibwa, kubanga bitukuvu.