Exodus 29:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okumala ennaku musanvu omwaliiro onooguweererezanga ekitambiro eky'okuddaabiriza, olwo ogutukuze; bwe kityo gulifuuka mutukuvu, na buli ekigukomako kiriba kitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojja kumala ennaku musanvu ng’owaayo ekiweebwayo olw’okulongoosa ekyoto, okitukuze; era ekyoto kijja kubeera kitukuvu nnyo, buli ekinaakikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga; era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olikola ekyo buli lunaku, okutukuza alutaari, okumala ennaku musanvu, olwo alutaari eribeera ntukuvu nnyo. Buli ekinaagikoonangako kinaabeeranga kitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga: era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu.