Exodus 29:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaliga akookubiri okaweerezanga akawungeezi; ekitone kyakyo eky'obuwunga n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa bibeere nga bwe kiba ku makya; akawoowo akasanyusa, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omwana gw'endiga omulala onooguwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Endiga ento endala onoogitambiranga akawungeezi, n'owaayo awamu nayo, obuwunga obw'eŋŋaano, n'ekinywebwa eky'omwenge ogw'emizabbibu nga ku makya, bibeere evvumbe eddungi lye nsiima Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omwana gw'endiga omulala onoomuwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.