Exodus 29:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ky'ekyo ekinaabanga ekitambiro ekyokye eky'olubeerera eky'amazadde go gonna agaliddirira, ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, mu maaso g'Omukama gye nnaakusisinkananga okwogera naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo wenaabasisinkaniranga okwogera nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe gyonna egijja, ekitambiro kino ekyokebwa, kinaaweebwangayo mu maaso gange, ku mulyango gw'Eweema ey'okunsisinkanirangamu. Awo we nnaabasisinkaniranga okwogera nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama: awo we nnaasisinkaniranga nammwe, okwogerera awo naawe.