Exodus 29:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nditukuza Weema ey'Ensisinkano n'omwaliiro. Nditukuza Aroni ne batabani be, bampeereze nga bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe ntyo nnaatukuza Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, era Alooni ne batabani be nabo nnaabatukuza, bampeereze nga bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto; ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nditukuza Eweema ey'okunsisinkanirangamu, era nditukuza alutaari. Era nditukuza Arooni ne batabani be, okumpeerezanga mu bwakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto: ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona.