Exodus 29:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'oddira ebyambalo n'obyambaza Aroni: ekkanzu, omunagiro gw'efodi, efodi n'ekipaapi eky'oku kifuba, omusibangako efodi n'ewuzi y'efodi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddira ebyambalo, oyambaze Alooni ekkooti, n’ekyambalo ekiri ng’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, n’ekyomukifuba, omusibeko omusipi gw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ogwalukibwa n’amagezi amangi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'eky'omukifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibbwa n'amagezi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olyambaza Arooni ebyambalo: essaati, ekkanzu, omunagiro ogubikka ku kkanzu, n'ekyambalo eky'omu kifuba, n'omusiba ku kkanzu olukoba olulukiddwa n'amagezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'eky'omu kifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi: