Exodus 29:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'obasiba emisipi mu biwato byabwe, n'obazingirira amatambaala ku mitwe gyabwe. Obwakabona bujja kubeera bwabwe mu tteeka lino ery'olubeerera. Bw'otyo bw'oliwa Aroni ne batabani be obwakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira; era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo. Bw'otyo bw'olyawula Alooni n'abaana be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'obasiba enkoba mu biwato, era n'obatikkira enkuufiira ku mitwe. Bw'otyo bw'olyawula Arooni ne batabani be. Bo n'ezzadde lyabwe banampeerezanga mu bwakabona ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira: era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo: era olijjuza emikono gya Alooni n'abaana be.