Exodus 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Musa bwe yali alunda endiga za Yeturo mukoddomi we, kabona wa Midiyaani, n'atwala eggana ku ludda olw'ewala mu ddungu, n'atuuka ku Korebu, olusozi lwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w'e Midiyaani; n'atwala ekisibo n'akiyisa mu ddungu, n'atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa yali ng'alunda eggana lya kabona w'e Midiyaani, Yetero kitaawe wa mukazi we, n'atwala eggana n'aliyisa mu ddungu, n'atuuka ku Horebu, olusozi olutukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w’e Midiyaani: n'atwala ekisibo ennyuma w'eddungu n'atuuka ku lusozi lwa Katonda Kolebu.