Exodus 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati genda, nkutuma eri Faraawo, oggyeyo abantu bange mu Misiri, Abayisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno jjangu, nkutume eri Falaawo mu Misiri, oggyeyo abaana ba Isiraeri, abantu bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale jjangu, nkutume eri kabaka w'e Misiri, oggyeyo abantu bange Abayisirayeli mu nsi ye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri.