Exodus 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'amuddamu nti: “Ndiba naawe. Kano ke kabonero kw'olitegeerera nga nze nkutumye: Bw'olimala okuggya abantu bange mu Misiri, olisinza Katonda ku lusozi luno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'amugamba nti, “Mazima ndibeera wamu naawe; era kano ke kabonero akalikukakasa nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulinsinziza ku lusozi luno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'addamu nti: “Ndibeera wamu naawe. Era kano ke kabonero akalikukakasa nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulinsinziza ku lusozi luno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mazima ndibeera wamu naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno.