Exodus 3:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Katonda nti: “Kale nzija kugenda eri Abayisirayeli mbagambe nti ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli.’ Naye bwe banambuuza nti: ‘Erinnya lye ye ani?’ ndibaddamu ntya?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Katonda nti, “Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe yantumye eri mmwe;’ nabo balimbuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Katonda nti: “Bwe ndituuka eri Abayisirayeli ne mbagamba nti: ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli,’ ne bambuuza nti: ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibagamba ntya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Katonda nti Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe yantumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya lye ye ani? ndibagamba ntya?