Exodus 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Musa nti: “Nze Ndi Aliwo.” N'ayongera nti: “Abayisirayeli bagambe bw'oti nti: ‘Aliwo antumye gye muli.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’agamba Musa nti, “ Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘ Ndi y’antumye gye muli.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba Musa nti, “NINGA BWE NDI,” n'ayogera nti, “Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti, ‘NDI ye antumye eri mmwe.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba Musa nti: “Nze NDI.” Bw'otyo bw'oligamba Abayisirayeli nti: “NDI ye antumye gye muli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba Musa nti NINGA BWE NDI: n'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe.