Exodus 3:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Katonda n'agamba Musa nti: “Bw'oti bw'oba ogamba Abayisirayeli nti: ‘Omukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, Katonda wa Yakobo antumye gye muli. Lino lye linnya lyange emirembe gyonna. Era n'erinnya lino bwe ntyo bwe najjukirwanga mu mazadde n'amazadde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘ Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’ “Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera, era lye linnya lye nnajjuukirirwangako mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda nate n'agamba Musa nti, Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti, “Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe, eryo lye linnya lyange emirembe n'emirembe, era bwe ntyo bwe nnajjukirwanga emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda era n'agamba Musa nti: “Bw'otyo bw'oligamba Abayisirayeli nti: NDI, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo, ye antumye gye muli. Eryo lye linnya lyange emirembe n'emirembe, era bwe ntyo bwe nnajjukirwanga ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba nate Musa nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe: eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n'ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna.