Exodus 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Genda okuŋŋaanye abakulu ba Yisirayeli, obabuulire nti: ‘Omukama Katonda wa bajjajjammwe andabikidde, Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, Katonda wa Yakobo, n'agamba nti: “Mazima mbalambudde era ndabye byonna ebibakolebwa mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘ Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri bonna, obagambe nti, Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira n'aŋŋamba nti, ‘Nzize gye muli, era ndabye okubonaabona kwammwe mu Misiri.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Genda okuŋŋaanye wamu abakulembeze b'Abayisirayeli, obagambe nti: ‘Mukama Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Aburahamu, owa Yisaaka, era owa Yakobo, yandabikira n'agamba nti: Nzize gye muli, era ndabye bye babakolako mu Misiri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri awamu, obagambe nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikidde ng'ayogera nti Mbajjiridde ddala, ndabye bye mukolebwa mu Misiri: