Exodus 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno nteesezza okubaggya mu kubonaabona kw'omu Misiri, mbatwale mu nsi y'Abakanaani, Abakitti, Abaamori, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi; ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenvudde nsuubiza okubaggya mu kubonaabona kwe balimu mu Misiri, mbaleete mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi; y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmaliridde okubaggya mu kubonaabona okw'e Misiri mbayingize mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne nsalawo okubaggya mu Misiri gye bababonyaabonyeza, mbatwale mu nsi engagga era eŋŋimu, ey'Abakanaani n'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne njogera nti Ndibalinnyisa okubaggya mu kibonoobono eky'e Misiri okuyingira mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki.