Exodus 3:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajja kuwuliriza ebigambo byo. Ojja kugenda eri kabaka w'e Misiri nga muli wamu n'abakulu ba Yisirayeli, omugambe nti: ‘Omukama Katonda w'Abeebureeyi yatusisinkanye. Awo nno tukkirize tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tutambirire Omukama Katonda waffe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza by’ogamba. Kale, ggwe n’abakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘ Mukama, Katonda w’Abaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Balikkiriza by'olibagamba era ggwe n'abakadde ba Isiraeri ne mulyoka mugenda eri Kabaka w'e Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya yatulabikira; kale nno, tukkirize tukwegayiridde, tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bange baliwulira ky'olibagamba. Ggwe n'abakulembeze ba Yisirayeli, muligenda eri kabaka w'e Misiri, ne mumugamba nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi yatulabikira. Kale nno tukwegayiridde, tukkirize tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balikuwulira eddoboozi lyo: olijja, ggwe n'abakadde ba Isiraeri, eri kabaka w'e Misiri, mulimugamba nti Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, yatujjira: kale nno, otulagire, tukwegayiridde, tugende olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe.