Exodus 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro, wakati mu kisaka eky'amaggwa. Musa n'alaba ekisaka nga kyaka omuliro naye nga tekiggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka. Musa n'alaba ekisaka ekyo nga kyaka omuliro, naye nga tekisiriira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro oluva mu kisaka wakati. Musa n'alaba ekisaka nga kyaka, naye nga tekisiriira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka: n'atunuulira, laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira.