Exodus 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno nzija kulaga obuyinza bwange, nkube Abamisiri n'ebyewuunyisa byonna bye ŋŋenda okukola mu bo. Ekyo nga kiwedde, alibaleka ne mugenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyendiva nkozesa amaanyi gange, ne mbonereza Misiri n’ebyamagero bye ndikolera mu nsi omwo; n’oluvannyuma alibakkiriza ne mugenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndikozesa obuyinza bwange ne nkola eby'amagero mu Misiri okugibonereza; ebyo bwe biriggwa, alibaleka okugenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo ndikozesa obuyinza bwange ne nkola ebyamagero mu Misiri okugibonereza. Ebyo bwe biriggwa, alibakkiriza okugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndigolola omukono gwange, ne nkuba Misiri n'amagero gange gonna ge ndikola wakati waayo: oluvannyuma lwago alibalagira.