Exodus 3:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bano ndibawa omukisa mu maaso g'Abamisiri, nga mugenda muleme kugenda ngalo nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era Abamisiri ndibaagazisa abantu abo; bwe mutyo bwe muliba musitula, temulivaayo ngalo nsa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri ndibawa okwagalibwa Abamisiri, era temulivaayo ngalo nsa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era ndyagazisa Abayisirayeli mu Bamisiri, olwo bwe muliba muvaayo, temulivaayo ngalo nsa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibawa abantu abo okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri: awo lwe mulivaayo, temulivaayo bwereere: