Exodus 3:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli mukazi alisaba muliraanwa we n'oyo asula mu nnyumba ye eby'okwewoomya ebya ffeeza n'ebya zaabu n'engoye. Ebyo bye mulyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; bwe mutyo bwe mulyaya Abamisiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mukazi Omuyisirayiri alisaba omukazi Omumisiri muliraanwa we, n’oyo bwe basula mu nju emu, ebitemagana ebya ffeeza n’ebya zaabu, n’engoye ez’okwambala. Ebyo byonna mulibyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; Abamisiri ne muleka nga mubakalizza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli mukazi Omuisiraeri aligenda eri mulirwaana we Omumisiri n'eri buli mukazi Omumisiri, gw'abeera naye mu nnyumba, n'abasaba engoye n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu. Mulibitikka batabani bammwe ne bawala bammwe; bwe mutyo bwe mulitwala obugagga bw'Abamisiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli mukazi Omuyisirayeli aligenda eri muliraanwa we Omumisiri, n'eri buli mukazi Omumisiri, gw'asuza mu nnyumba, n'amusaba engoye n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu. Mulibitikka batabani bammwe ne bawala bammwe, bwe mutyo ne mutwala obugagga bw'Abamisiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye buli mukazi alisaba muliraanwa we n'oli abeera mu nnyumba ye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye: mulibiteeka ku batabani bammwe n'abawala bammwe; mulinyaga Abamisiri.