Exodus 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yamulaba ng'agenda okutunuulira, Katonda n'ayima mu makkati mu kisaka n'amuyita nti: “Musa, Musa!” Ko ye: “Nzuuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama bwe yalaba ng'asembera okwetegereza, n'amuyita ng'ayima wakati mu kisaka nti, “Musa, Musa!” Musa n'ayitaba nti, “Nze nzuuno!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda bwe yalaba nga Musa asembedde okulaba, n'amuyita nti: “Musa, Musa!” Musa n'ayitaba nti: “Nzuuno!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n'amuyita ng'ayima wakati w'ekisaka n'ayogera nti Musa, Musa. N'ayitaba nti Nze nzuuno.