Exodus 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Tojja kumpi. Naanula engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ttaka ttukuvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Tosembera wano; ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu kitukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba nti: “Tosembera wano. Ggyamu engatto mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu, ttaka ttukuvu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ye ensi entukuvu.