Exodus 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'agamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo, Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, Katonda wa Yakobo.” Musa ne yeebikka ku maaso, ng'atya okutunula ku Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.” Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nate nti, “Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.” Musa ne yeebikka mu maaso, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'agamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo, Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo.” Musa ne yeebikka mu maaso, kubanga yatya okutunula ku Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n'akweka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda.