Exodus 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba nti: “Mazima ndabye okubonaabona kw'abantu bange mu Misiri, mpulidde okulaajana kwabwe olw'okubeera ababakozesa, mmanyi obulumi bwabwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe olw'abo ababakozesa; ntegeeredde ddala okubonaabona kwabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba nti: “Ndabidde ddala okubonaabona kw'abantu bange abali mu Misiri, era mpulidde okukaaba kwabwe, nga basaba okubawonya abo ababakozesa ng'abaddu. Mmanyi obuyinike bwabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw'abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe;