Exodus 3:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne nzikirira mbawonye mu mikono gy'Abamisiri, mbaggye mu nsi eyo, mbatwale mu nsi ennungi ate engazi, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, ensi y'Abakanaani, Abakitti, Abaamori, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, n'okubaggya mu nsi eyo, mbayingize mu nsi ennungi, era engazi, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; erimu kati Abakanani, Abakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi n'Abayebusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kyenvudde nzika okubawonya obufuzi bw'Abamisiri, n'okubaggya mu nsi eyo, mbayingize mu nsi ennungi era engazi, ensi engagga era eŋŋimu, erimu kati Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaamori, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki; mu kifo eky'omu Kanani, n'eky'omu Kiiti, n'eky'omu Amoli, n'eky'omu Perizi, n'eky'omu Kiivi, n'eky'omu Yebusi.