Exodus 3:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati laba omulanga gw'Abayisirayeli gutuuse gye ndi, nange ndabye okunyigirizibwa Abamisiri kwe babanyigirizaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, kaakano, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi; era ndabye engeri Abamisiri gye bababonyaabonyaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala okukaaba kw'Abayisirayeli kutuuse gye ndi, era ndabye engeri Abamisiri gye bababonyaabonyaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale laba, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi: nate ndabye okubonaabona kwe baababonyaabonya Abamisiri.