Exodus 30:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni omukolo ogw'okuddaabiriza anaagukoleranga ku mayembe g'omwaliiro omulundi gumu buli mwaka nga yeeyamba omusaayi ogw'ekitambiro olw'ekibi; omukolo ogw'okuddaabiriza anaagukolanga omulundi gumu mu mwaka, amazadde gammwe gonna. Omwaliiro guno gusukkulumye mu butukuvu olw'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka; n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna; kye kitukuvu ennyo eri Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulundi gumu buli mwaka, Arooni anaakolanga omukolo ogw'okutukuza alutaari, ng'ateeka ku mayembe gaayo omusaayi gw'ensolo ettibwa olw'okusonyiyisa ebibi. Kino kinaakolebwanga buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna egijja. Alutaari eyo entukuvu ennyo, yange Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka: n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna: kye kitukuvu ennyo eri Mukama.