Exodus 30:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'obanga obala Abayisirayeli, ng'okola olukalala lwabwe, buli omu wa kusasulanga omutango olw'obulamu bwe, akabenje kaleme kubagwamu nga babalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'onoobalanga abantu ba Yisirayeli okumanya bwe benkana obungi, buli muntu abalibwa anaasasulanga Nze Mukama ensimbi, okununula obulamu bwe, balyoke baleme kuttibwa kawumpuli nga babalibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, bw'onoobabalanga; kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga.