Exodus 30:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna eyabalibwa n'ayingizibwa ku lukalala, asasulanga kyakubiri ekya sekeli, ng'obalidde ku sekeli ey'omu Kitukuvu eweza gera amakumi abiri. Ekitundu kya sekeli kino kitone kya Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kye banaawanga: buli anaabalibwanga anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: sekeri emu yenkana ne gera abiri, ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu anaamalanga okubalibwa, anaawanga ekitundu kimu kyakubiri ekya sekeli, omuwendo ogwagerekebwa okusasulwanga mu Kifo Ekitukuvu. Anantoneranga ensimbi ezo ng'ekirabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kye banaawanga, buli anaayitanga mu abo ababaliddwa anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: (sekeri emu yenkana ne gera amakumi abiri:) ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama.