Exodus 30:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu abalibwa, kwe kugamba nti awezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, anaawanga ekitone ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaabalibwanga y'oyo awezezza emyaka abiri n'okusingawo, era anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu awezezza emyaka amakumi abiri oba okusingawo, anaamalanga okubalibwa, anampanga omuwendo gw'ensimbi ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli anaayitanga mu abo ababaliddwa, bonna abaakamala emyaka amakumi abiri oba kusingawo anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama.