Exodus 30:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugagga si wa kuwa kusinga, n'omwavu si wa kukendeerezebwako ku kitundu kya sekeli, ekitonerwa Omukama, nga ssente ez'okununula obulamu bwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga ku kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugagga taasasulenga zisingawo bungi, n'omwavu taasasulenga zitawera kitundu kimu kyakubiri ekya sekeli, nga bawaayo ensimbi ezo olw'okubasonyiyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga ku kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe.