Exodus 30:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssente zino ez'okununula onoozifunanga mu Bayisirayeli n'ozikozesa mu kuweereza okw'omu Weema y'Endagaano. Zinaaberanga ekijjukizo eri Abayisirayeli mu maaso g'Omukama, nga ssente ez'okununula obulamu bwammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onootwalanga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olikuŋŋaanya ensimbi ezo, Abayisirayeli ze bawaddeyo olw'okubasonyiyisa, n'ozikozesa emirimu egy'omu Weema ey'okunsisinkanirangamu. Ensimbi ezo, zinaasasulwanga olw'okubasonyiyisa, era zinaabanga ekijjukizo mu maaso gange, Nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onootwalanga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe.