Exodus 30:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era ojja kukola ekinaabirwamu eky'ekikomo, n'ekikondo kyakyo eky'ekikomo, we w'okunaabira. Okissanga wakati wa Weema ey'Ensisinkano n'omwaliiro n'ossaamu n'amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, okunaabirangamu; n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olikola ebbenseni ey'ekikomo, ebe n'ekikondo eky'ekikomo, ogiteeke wakati wa alutaari n'Eweema ey'okunsisinkanirangamu, era ogiteekemu amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, okunaabirangamu: n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi.