Exodus 30:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gujja kubeera gwa mukono gumu obuwanvu, n'obugazi omukono gumu, nga gwenkanankana ku njuyi zonna, obusimba emikono ebiri; amayembe gaagwo nga gali ekintu kimu nagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obugulumivu bwakyo mikono ebiri; amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eryenkanankana enjuyi zonna: sentimita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne sentimita amakumi ana mu ttaano obugazi, ate sentimita kyenda obugulumivu. Amayembe gaayo galiba ga muti gwe gumu ng'ogwayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obugulumivu bwakyo mikono ebiri: amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo.