Exodus 30:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ey'Ensisinkano, banaabanga mu mazzi baleme kufa; era bwe banaabanga basemberera omwaliiro olw'omulimu gwabwe, okuweereza Omukama ekitambiro ekyokye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, oba nga bagenda okusemberera alutaari, kwe bampeerereza ekiweebwayo ekyokebwa, banaanaabanga amazzi, baleme okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: