Exodus 30:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si gwa kufukibwa ku mubiri gwa muntu wa bulijjo, era temukolanga muzigo mulala gwonna guli ng'ogwo. Mutukuvu, era gunaabeeranga mutukuvu gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa; ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teguufukibwenga ku bantu ba bulijjo, era temuukolenga gugufaanana, nga mugutabula mu ngeri ye emu. Gwo mutukuvu, era gunaabeeranga mutukuvu gye muli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa: ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli.