Exodus 30:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obumu buse bubeere lufufugge obusse mu maaso g'Endagaano mu Weema ey'Ensisinkano we nnaakusisinkananga. Bunaabeeranga butukuvu gye muli;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe; kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olikitoolako ekitundu n'okisekulasekula nnyo, n'okiteeka mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano. Ekyokwoteza ekyo, kinaabeeranga kitukuvu nnyo gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe: kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli.