Exodus 30:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwo Aroni kw'alyokeranga obubaani obw'akawoowo buli nkya; bw'anaabanga alongoosa ettawaaza, ng'ayokerako obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa; buli nkya bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni bw'ajjanga buli nkya okulongoosa ettaala, anaayoterezanga ku alutaari eyo obubaane obw'akawoowo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa: buli nkya, bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga.