Exodus 30:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akawungeezi Aroni bw'anaabanga akoleeza ettawaaza, anaddangamu n'abwokya; obubaani bwa kwokebwanga mu maaso g'Omukama obutasalako amazadde gammwe gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era anaabwoterezanga, bw'anaakoleezanga ettaala akawungeezi. Obubaane bunaanyookeranga mu maaso gange, nze Mukama, obutasalako mu mirembe gyammwe gyonna egijja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.