Exodus 31:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebyambalo ebiruke, ebyambalo ebitukuvu ebya Aroni kabona n'ebyambalo bya batabani be mwe bakolera emirimu gy'obwakabona,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebyambalo ebyalukibwa obulungi, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni, kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye baweererezaamu mu bwakabona;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebyambalo ebikoleddwa obulungi, era ebitukuvu ebya Arooni ne batabani be, bye bambala nga baweereza mu bwakabona;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona;