Exodus 31:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'omuzigo ogw'okusiiga, n'obubaani obw'akawoowo obw'okukozesa mu Kifo Ekitukuvu. Byonna babikoleranga ddala nga bwe mbikulagidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amafuta ag’okufukibwa, n’ebyakaloosa akalungi ak’omu Kifo Ekitukuvu. “Byonna babikole nga bwe nakulagira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amafuta ag'okufukibwangako, n'eky'okwoteza eky'ebyakaloosa akalungi ebya watukuvu; nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omuzigo ogusiigibwa, n'obubaane obuwunya akawoowo, eby'omu Kifo Ekitukuvu. Ebintu ebyo byonna, balibikola nga bwe nkulagidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amafuta ag'okufukibwangako, n'eky'okwoteza eky'eby'akaloosa ebiwoomerevu ekya watukuvu: nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo.