Exodus 31:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yogera eri Abayisirayeli, obagambe nti: ‘Muteekwa okukuumanga Sabbaato yange, kubanga Sabbaato ke kabonero wakati wange nammwe amazadde gammwe gonna; ke kanaalaganga nti Nze Mukama abatukuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era buulira abaana ba Isiraeri nti, ‘Mazima mukwatanga Ssabbiiti zange; kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutegeeza Abayisirayeli nti: “Mukuumanga Sabbaato, olunaku olw'okuwummula, kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna egijja, okubalaga mmwe nti Nze Mukama abatukuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buulira abaana ba Isiraeri nti Mazima mukwatanga ssabbiiti zange: kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna; mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza.