Exodus 31:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno muteekwa okukuumanga Sabbaato, kubanga ntukuvu gye muli. Omuntu agyonoona wa kuttibwanga. Buli yenna akola omulimu gwonna ku olwo, wa kukutulwanga okuva mu bantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Munaakuumanga Ssabbiiti, kubanga lunaku lutukuvu. Buli anaaluweebuulanga waakufa; ne buli anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo waakuggibwa mu bantu be, attibwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyemunaavanga mukwata Ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli; buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa; kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukuumanga Sabbaato, kubanga lunaku lwammwe lutukuvu. Buli ataalukuumenga, n'amala alukolerako emirimu, alittibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyemunaavanga mukwata ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli: buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa: kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.