Exodus 31:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okukola kwa kubeerangawo mu nnaku mukaaga, naye olwomusanvu Sabbaato, lwa kuwummulira ddala, lwawuliddwa Omukama. Buli yenna akolanga omulimu ku lwa Sabbaato wa kuttibwanga.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emirimu ginaakolwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula, lunaku lwa Mukama lutukuvu. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku lwa Ssabbiiti wa kuttibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo Ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama; buli anaakoleranga emirimu gyonna ku Ssabbiiti, talemanga kuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku mukaaga ze zinaakolerwangako emirimu. Naye olunaku olw'omusanvu, lunaku lukulu, lwa kuwummula, lwawuliddwa Nze Mukama. Buli akola emirimu ku Sabbaato, alittibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama: buli anaakoleranga emirimu gyonna ku ssabbiiti, talemanga kuttibwa.