Exodus 31:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ba kukuumanga Sabbaato nga bagikuza amazadde gaabwe gonna. Eno ndagaano ya lubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abaana ba Isirayiri banaakumanga olunaku lwa Ssabbiiti, nga balujjukira mu mirembe gyabwe gyonna, ng’endagaano etaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata Ssabbiiti, okwekuumanga Ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli kyebanaavanga bakuuma Sabbaato, nga ke kabonero ak'endagaano ey'olubeerera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo.