Exodus 31:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakati wange n'abaana ba Yisirayeli Sabbaato eneebeeranga kabonero ka lubeerera, anti Omukama yakola eggulu n'ensi mu nnaku mukaaga, naye ku lunaku olwomusanvu n'awummula, n'assa ekikkowe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kanaabeeranga kabonero wakati wange n’abaana ba Isirayiri emirembe gyonna, akalaga nti Mukama yakola eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, ne ku lunaku olw’omusanvu n’alekeraawo okukola, n’awummula.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna; kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ke kabonero wakati wange n'Abayisirayeli ennaku zonna, kubanga Nze Mukama, nakola eggulu n'ensi mu nnaku mukaaga, ku lunaku olw'omusanvu ne ndekera awo okukola, ne mpummula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.