Exodus 31:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era mmulondeddeko Oliyabu mutabani wa Akisamaki, ow'ekika kya Daani; ne bakakensa bonna mbawadde obukugu, balyoke batuukirize byonna bye nkulagidde:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, ow’omu kika kya Ddaani, okumuyamba. “Era abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri, mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne bonna abalina obusobozi ntadde amagezi mu mitima gyabwe, bakole byonna bye nkulagidde;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nnonze Aholiyaabu, mutabani wa Ahisamaki ow'omu Kika kya Daani, okukola awamu naye. Era abakozi bonna mbawadde amagezi, balyoke basobole okukola byonna bye mbalagidde:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne mu mitima gyabwe bonna abalina emitima egy'amagezi ngitaddemu amagezi bakole byonna bye nkulagidde: