Exodus 32:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bwe baalaba nga Musa aluddewo okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Aroni, ne bamugamba nti: “Situka. Tukolere balubaale batukulembere, kubanga ono omusajja Musa, eyatuggya mu Misiri, tetumanyi ky'abadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti, “Golokoka, otukolere katonda anaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu bwe baalaba nga Musa aluddewo okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Arooni, ne bamugamba nti: “Tetumanyi kyatuuka ku Musa, eyatuggya mu nsi y'e Misiri. Kale tukolere balubaale abanaatukulemberangamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti Golokoka, otukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.